Ennyiriri za Bayibuli ku Ebigendererwa bye Binywera
Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Ebigendererwa bye Binywera okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egy’edda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe; byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
“Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna, era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.
Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna; n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.
Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti, “Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo era nga bwe nateesa, bwe kirinywera bwe kityo.
“Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya? Akola kyonna ekimusanyusa.