Ennyiriri za Bayibuli ku Obufuzi bwa Katonda
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Obufuzi bwa Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu, n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
Abantu bonna ab’oku nsi abalaba nga si kintu, eggye ery’omu ggulu n’abantu ab’oku nsi abayisa nga bw’asiima. Tewali ayinza okumuziyiza, newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?”
Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi, n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna. Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli, era ggwe ofuga ebintu byonna; omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama, era y’afuga amawanga gonna.
Katonda waffe ali mu ggulu; akola buli ky’ayagala.
Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe. Okufuga kwe tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, era ng’enfuufu ekutte ku minzaani, apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera, n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe. Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa, n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe;