Ennyiriri za Bayibuli ku Katonda Afuga

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Katonda Afuga okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 93:1

Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa.

02 Zabbuli 47:8

Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.

03 Okubikkulirwa 19:6

Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti, “Aleruuya, kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna y’afuga.

04 Isaaya 52:7

Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi, alangirira emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, alangirira obulokozi, agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”

05 Zabbuli 96:10

Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

06 Zabbuli 99:1

Mukama afuga, amawanga gakankane; atuula wakati wa bakerubi, ensi ekankane.

07 1 Ebyomumirembe 16:31

Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze; boogere mu mawanga nti, “ Mukama afuga!”

08 Zabbuli 145:13

Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera, n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe. Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa, n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.

09 Danyeri 7:14

N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.

10 Okuva 15:18

Mukama anaafuganga emirembe n’emirembe.”

Emitwe egikwatagana