Ennyiriri za Bayibuli ku Omusana gw'Ensi
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Omusana gw'Ensi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.
Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”
Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.
Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono.
“Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi.
Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi, abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.
Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti, “ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga, olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”