Ennyiriri za Bayibuli ku Okuwanirirwa

Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Okuwanirirwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 55:22

Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama, ajja kukuwanirira; kubanga talireka mutuukirivu kugwa.

02 Isaaya 41:10

Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”

03 Zabbuli 54:4

Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange.

04 Isaaya 46:4

Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

05 Zabbuli 18:35

Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange; era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo; weetoowazizza n’ongulumiza.

06 Zabbuli 3:5

Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira.

07 Isaaya 40:31

Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.

08 Zabbuli 145:14

Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa, era ayimusa bonna abagwa.

09 Ekyamateeka Olwokubiri 33:27

Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, n’agamba nti, ‘Bazikirize!’

10 Zabbuli 37:24

Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi, kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

11 Zabbuli 119:116

Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu; nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.

12 Okukungubaga 3:22-23

Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.

13 Zabbuli 94:18

Bwe naleekaana nti, “Nseerera!” Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.

14 Nekkemiya 9:21

Wabalabirira okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwa kintu, so n’engoye zaabwe tezaayulika newaakubadde ebigere byabwe okuzimba.

15 Zabbuli 121:3

Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga.

Emitwe egikwatagana