Ennyiriri za Bayibuli ku Obunafu

Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Obunafu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 2 Abakkolinso 12:9

Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe.

02 2 Abakkolinso 12:10

Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.

03 Isaaya 40:29

Awa amaanyi abazirika, n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.

04 Abaebbulaniya 4:15-16

Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna. Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

05 2 Abakkolinso 4:7

Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe.

Emitwe egikwatagana