Ennyiriri za Bayibuli ku Okuwonyezebwa

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Okuwonyezebwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yeremiya 17:14

Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona, ndokola nange nnaalokoka, kubanga ggwe gwe ntendereza.

02 Zabbuli 103:2-3

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, era teweerabiranga birungi bye byonna. Asonyiwa ebibi byo byonna, n’awonya n’endwadde zo zonna.

03 Isaaya 53:5

Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.

04 Okuva 15:26

ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

05 Zabbuli 147:3

Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.

06 Zabbuli 30:2

Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, n’omponya.

07 Yakobo 5:15

Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa.

08 Malaki 4:2

Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo.

09 1 Peetero 2:24

Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.

10 Zabbuli 41:3

Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; n’amuwonya mu bulumi.

11 Matayo 4:23

Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu.

12 Engero 3:7-8

Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi. Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo n’amagumba go ne gadda buggya.

13 Koseya 6:1

“Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga.

Emitwe egikwatagana