Ennyiriri za Bayibuli ku Okubonaabona

Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Okubonaabona okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 2 Abakkolinso 4:17

Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe.

02 Zabbuli 34:19

Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi, naye byonna Mukama abimuyisaamu.

03 Abaruumi 8:28

Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi.

04 2 Abakkolinso 4:8-9

Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka,

05 Zabbuli 119:71

Okubonerezebwa kwangasa, ndyoke njige amateeka go.

06 Zabbuli 119:50

Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.

07 Zabbuli 34:18

Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

08 Zabbuli 9:9

Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa; era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.

09 Zabbuli 119:67

Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo, naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.

10 Okukungubaga 3:32-33

Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo. Tagenderera kuleeta bulumi newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.

11 Yobu 5:17

“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira; noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.

12 Nakkumu 1:7

Mukama mulungi, kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, era alabirira abo bonna abamwesiga.

Emitwe egikwatagana