Ennyiriri za Bayibuli ku Obunyiikivu

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Obunyiikivu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Engero 12:24

Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi, naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.

02 Engero 10:4

Emikono emigayaavu gyavuwaza, naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.

03 Abakkolosaayi 3:23

Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu,

04 Engero 13:4

Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna, naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.

05 Omubuulizi 9:10

Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

06 Engero 21:5

Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere, naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.

07 Engero 22:29

Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe? Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.

Emitwe egikwatagana