Ennyiriri za Bayibuli ku Emirimu

Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Emirimu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abakkolosaayi 3:23

Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu,

02 Abakkolosaayi 3:24

nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;

03 Engero 16:3

Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama, naye anaatuukirizanga entegeka zo.

04 Omubuulizi 9:10

Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

05 1 Abakkolinso 10:31

Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.

06 Engero 14:23

Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba, naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.

07 2 Basessaloniika 3:10

Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.

08 Olubereberye 2:15

Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga.

Emitwe egikwatagana