Ennyiriri za Bayibuli ku Obwavu
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Obwavu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.
Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta, Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza; atoowaza ate n’agulumiza.
Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala, ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “ Mukama ye y’ani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi, naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.
Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda, n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.
Ayanjululiza abaavu omukono gwe, n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu, naye alikoowoola nga talina amwanukula.
n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala, n’emba zaabwe nga zirimu ebiso, okusaanyaawo abaavu mu nsi, n’abo abali mu kwetaaga.