Ennyiriri za Bayibuli ku Okumatira

Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Okumatira okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abafiripi 4:11

Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga.

02 1 Timoseewo 6:6-8

Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. Naye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga.

03 Abaebbulaniya 13:5

Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti, “Sirikuleka era sirikwabulira n’akatono.”

04 Engero 30:8-9

Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala, ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “ Mukama ye y’ani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.

05 Abafiripi 4:12-13

Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

Emitwe egikwatagana