Ennyiriri za Bayibuli ku Omuliro Ogwokya

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Omuliro Ogwokya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaebbulaniya 12:29

Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”

02 Ekyamateeka Olwokubiri 4:24

Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda ow’obuggya.

03 Okuva 24:17

Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi.

04 Malaki 3:2

“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza.

05 Isaaya 33:14

Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde, okutya kujjidde abatalina Katonda. “Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo? Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”

06 Ekyamateeka Olwokubiri 9:3

Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.

07 Abaebbulaniya 10:31

Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

08 2 Basessaloniika 1:7-8

Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi, mu muliro ogwaka, n’abonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu.

09 Nakkumu 1:6

Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde? Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi? Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro, n’enjazi n’eziyatikayatika.

Emitwe egikwatagana