Ennyiriri za Bayibuli ku Tambula mu Kwagala

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Tambula mu Kwagala okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaefeso 5:2

Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.

02 1 Yokaana 4:16

Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli. Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.

03 Abaefeso 4:2

Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala.

04 1 Abakkolinso 16:14

Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.

05 Yokaana 13:35

Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”

06 Abaruumi 13:10

Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.

07 1 Yokaana 4:7-8

Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala.

08 Abakkolosaayi 3:14

Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

09 1 Abakkolinso 13:4-5

Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo.

10 Abaggalatiya 5:13

Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne.

11 Abaruumi 12:9-10

Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,

12 1 Basessaloniika 3:12

Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala,

13 2 Yokaana 1:6

Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.

Emitwe egikwatagana