Ennyiriri za Bayibuli ku Etteeka Erisinga Obukulu

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Etteeka Erisinga Obukulu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Matayo 22:37-39

Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’

02 Ekyamateeka Olwokubiri 6:5

Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna.

03 Makko 12:30

Era yagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’omwoyo gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’

04 Ebyabaleevi 19:18

“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.

05 Abaruumi 13:9

Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”

06 Matayo 22:40

Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

07 Lukka 10:27

Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”

08 Abaggalatiya 5:14

Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”

09 1 Yokaana 4:21

Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”

10 Yokaana 14:15

“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,

11 Yoswa 22:5

Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna.”

Emitwe egikwatagana