Ennyiriri za Bayibuli ku Obugabi
Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Obugabi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.
Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala; naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala. Omuntu agaba anagaggawalanga, n’oyo ayamba talibulako amuyamba.
Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”
Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.”
Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa, kubanga emmere ye agirya n’abaavu.
bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana n’abalala.
Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.
Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo.
Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.
Temwerabiranga kukola bulungi n’okugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo Katonda zimusanyusa.
Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga, naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.
Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba, era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.