Ennyiriri za Bayibuli ku Okwagala Abalabe
Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Okwagala Abalabe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
01 Matayo 5:44
Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya!
“Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi. Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga.
“Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.”
04 Engero 25:21
Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye, bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga.