Ennyiriri za Bayibuli ku Ekisa

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Ekisa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaefeso 4:32

Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.

02 Abakkolosaayi 3:12

Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza.

03 Abaggalatiya 5:22-23

Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.

04 Engero 11:17

Omusajja alina ekisa aganyulwa, naye alina ettima yeereetako akabi.

05 Lukka 6:35

Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi.

06 Engero 19:17

Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

07 Mikka 6:8

Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

Emitwe egikwatagana