Ennyiriri za Bayibuli ku Mwagalane
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Mwagalane okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala.
Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga.
nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,
Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa.
Era kino ky’atulagira nti, tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira.
Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe.
Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda.
Mweyongere okwagalananga ng’abooluganda.
Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.
Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga,