Ennyiriri za Bayibuli ku Obwakabaka bwa Katonda
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Obwakabaka bwa Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.
ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.”
Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.
era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”
“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.
Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”
Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kwogera bwogezi, wabula mu maanyi.
“Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.