Ennyiriri za Bayibuli ku Yerusaalemi Empya
Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Yerusaalemi Empya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe.
N’antwala ku ntikko y’olusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; n’andaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ng’ejjinja ery’omuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja.
Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi eky’omu ggulu n’eri enkumi n’enkumi ez’abamalayika abakuŋŋaanye,
Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo. Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo.
Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe.
Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro.