Ennyiriri za Bayibuli ku Essanyu Eritaggwaawo
Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Essanyu Eritaggwaawo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza, okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.
Olindaga ekkubo ery’obulamu; w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu, era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
N’abo Mukama be wawonya balikomawo ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.
Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako.
Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu;
Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
Mu kifo ky’ensonyi, abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri. Mu kifo ky’okuswala basanyuke olw’ebyo bye balifuna era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri, essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
Abo abasiga nga bakaaba amaziga, baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula. Oyo agenda ng’akaaba ng’atwala ensigo okusiga; alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu ng’aleeta ebinywa bye.
Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
Mukama Katonda ali naawe, ow’amaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira n’okuyimba.”
Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera, n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
Nekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”
Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza,
Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.