Ennyiriri za Bayibuli ku Ekitonde Ekiggya

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Ekitonde Ekiggya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Okubikkulirwa 21:5

Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”

02 Okubikkulirwa 21:1

Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo.

03 2 Peetero 3:13

Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu.

04 Isaaya 65:17

“Laba nditonda eggulu eriggya n’ensi empya. Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.

05 Abaruumi 8:21

Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu n’abaana ba Katonda ekitiibwa eky’okuba mu ddembe.

06 Okubikkulirwa 21:4

Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

07 2 Abakkolinso 5:17

Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya.

Emitwe egikwatagana