Ennyiriri za Bayibuli ku Ejjinja Ekkulu ery'oku Nsonda

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Ejjinja Ekkulu ery'oku Nsonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaefeso 2:20

Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.

02 1 Peetero 2:6

Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni, ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde, oyo eyeesiga Kristo, taliswazibwa.”

03 Zabbuli 118:22

Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.

04 Isaaya 28:16

Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja, ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda, ery’omuwendo, okuba omusingi; oyo alyesiga taliterebuka.

05 Matayo 21:42

Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Kino kyava eri Mukama era kya kyewuunyo.’

06 Ebikolwa by’Abatume 4:11

“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

07 Abaefeso 2:21-22

Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

08 Makko 12:10-11

Temusomangako byawandiikibwa nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Ekyo Mukama ye yakikola era kitwewuunyisa nnyo okukiraba.’ ”

09 1 Peetero 2:7

Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza. Naye eri abatakkiriza, “Lye jjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”

10 Lukka 20:17

Yesu n’abatunuulira n’abagamba nti, “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Ekigamba nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

11 1 Abakkolinso 3:11

Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.

12 Abaruumi 9:33

nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n’olwazi olulibasuula. Oyo amukkiriza taliswazibwa.”

13 1 Peetero 2:4

Mujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo.

Emitwe egikwatagana