Ennyiriri za Bayibuli ku Omusumba Omulungi
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Omusumba Omulungi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga.
Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi.
Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange,
“ ‘Era bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira. Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza.
Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu. Akomyawo emmeeme yange. Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu olw’erinnya lye.
Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga.
Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro.
Aliisa ekisibo kye ng’omusumba, akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe n’abasitula mu kifuba kye, n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
Kubanga mwali muwabye ng’endiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.
“Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale n’agenda anoonya eri ebuze okutuusa Lw’agiraba? Bw’agiraba, agisitula ku bibegabega bye n’agitwala eka ng’ajaguza.
Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye.