Ennyiriri za Bayibuli ku Kabona waffe Omukulu
Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Kabona waffe Omukulu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula.
Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna.
Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.
Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu,
Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo.
Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu.
Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti, “Ggwe oli Mwana wange, leero nkuzadde ggwe.” Era n’awalala agamba nti, “Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza.
Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu,
kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda,
Kale abooluganda abatukuvu, Katonda b’ayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula.
Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka.