Ennyiriri za Bayibuli ku Erinnya lya Yesu
Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Erinnya lya Yesu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi, era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”
Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.
Katonda kyeyava amugulumiza, n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi, omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.
Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.
mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.
Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”
Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.
Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama, alirokolebwa.’