Ennyiriri za Bayibuli ku Okukemebwa
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okukemebwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.
Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu. Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa.
Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna.
Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”
Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.
Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.
Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.
Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa.