Ennyiriri za Bayibuli ku Obuggya
Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Obuggya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.
Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu, naye obuggya buvunza amagumba ge.
Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.
Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza.
Kale mukomye buli ngeri yonna ey’ettima, n’obulimba bwonna, n’obukuusa, n’obuggya, n’okwogera ekibi kwonna.
Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana.
Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya; bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.