Ennyiriri za Bayibuli ku Okusinza Bakatonda Abalala

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Okusinza Bakatonda Abalala okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Yokaana 5:21

Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.

02 Okuva 20:3-4

“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka. Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.

03 1 Abakkolinso 10:14

Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala.

04 Abakkolosaayi 3:5

Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.

05 Matayo 6:24

“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”

06 Okuva 20:5

Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa.

07 Zabbuli 115:4-8

Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa n’emikono gy’abantu. Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba. Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza. Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu, abakozi ababikola, n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

08 Yona 2:8

“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!

09 Isaaya 42:8

“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.

10 Abaruumi 1:25

Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

11 1 Abakkolinso 6:9-10

Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda.

12 Ekyamateeka Olwokubiri 6:14

Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde;

13 Abaggalatiya 5:19-21

Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

14 Kaabakuuku 2:18

“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi. Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba? Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye nga akola ebifaananyi ebitayogera!

Emitwe egikwatagana