Ennyiriri za Bayibuli ku Omubiri
Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Omubiri okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri.
Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala.
Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa eby’omubiri, muliba balamu,
naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.
N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo.
N’abo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.
Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola.
Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.
Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo.
Abaagalwa, mutegeerere ddala nti ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kw’omubiri, kubanga kulwanagana n’omwoyo.
Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.
Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo.
Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira.
kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.
Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe. Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.