Ennyiriri za Bayibuli ku Obuweereza

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Obuweereza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Makko 10:45

N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”

02 Matayo 20:28

Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”

03 Yokaana 13:15

Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze.

04 Abafiripi 2:7

wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu, era n’azaalibwa ng’omuntu, era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,

05 Abaggalatiya 5:13

Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne.

06 Matayo 23:11

Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe.

07 1 Peetero 4:10

Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba.

08 Makko 9:35

Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.”

09 Lukka 22:27

Mu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe.

10 Yoswa 24:15

Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”

11 Abakkolosaayi 3:23-24

Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;

Emitwe egikwatagana