Ennyiriri za Bayibuli ku Obwetoowaze
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Obwetoowaze okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka,
Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana n’ab’amalala naye abawombeefu abawa ekisa.”
Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza.
Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga “Katonda akyawa ab’amalala naye abawombeefu abawa omukisa.”
Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse, naye obwetoowaze buleeta amagezi.
Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi, n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza.