Ennyiriri za Bayibuli ku Obukulu mu Bwakabaka

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Obukulu mu Bwakabaka okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Matayo 20:26

Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne.

02 Matayo 23:11

Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe.

03 Makko 9:35

Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.”

04 Lukka 22:26

Naye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe.

05 Matayo 18:4

Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.

06 Matayo 18:3

N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu.

07 Lukka 9:48

N’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”

08 Matayo 20:27

Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe.

09 Makko 10:43-44

naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne. Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna.

Emitwe egikwatagana