Ennyiriri za Bayibuli ku Katonda Agulumiza Abeetoowaza
Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Katonda Agulumiza Abeetoowaza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Noolwekyo mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, naye alibagulumiza ng’obudde butuuse.
Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.
Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa, naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, ow’erinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.
Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka n’agulumiza abawombeefu.
Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana n’ab’amalala naye abawombeefu abawa ekisa.”
“Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”