Ennyiriri za Bayibuli ku Obwetoowaze

Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Obwetoowaze okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yakobo 4:10

Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

02 Engero 16:19

Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu, kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.

03 Isaaya 57:15

Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, ow’erinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.

04 Matayo 23:12

Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.

05 Lukka 14:11

Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”

Emitwe egikwatagana