Ennyiriri za Bayibuli ku Mubeere mu Kwagala kwange

Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Mubeere mu Kwagala kwange okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yokaana 15:9

“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange.

02 Yokaana 15:10

Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe.

03 Yokaana 15:13

Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.

04 Yuda 1:21

nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.

05 1 Yokaana 4:16

Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli. Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.

06 Yokaana 15:11

Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.

07 Yokaana 15:14

Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira.

08 Abaruumi 8:38-39

Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

09 1 Yokaana 4:9-10

Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe.

10 Abaefeso 3:17-19

Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu, mulyoke mubeerenga n’amaanyi awamu n’abatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, n’obuwanvu, n’obugulumivu n’okukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo. Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bw’ali.

11 Yokaana 17:26

Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”

12 Abaruumi 5:5

Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

Emitwe egikwatagana