Ennyiriri za Bayibuli ku Omuzabbibu n'Amatabi

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Omuzabbibu n'Amatabi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yokaana 15:4

mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.

02 Yokaana 15:5

“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola.

03 Yokaana 15:1

“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi.

04 Yokaana 15:2

Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala.

05 Yokaana 15:6

Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya.

06 Yokaana 15:3

Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye;

07 Yokaana 15:7

Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

08 Yokaana 15:8

Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.

09 Yokaana 15:16

Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga.

10 Zabbuli 80:8-9

Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri; n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba. Wagulongooseza ettaka, ne gumera, emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.

11 Abaggalatiya 5:22-23

Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.

12 Yeremiya 17:7-8

Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, nga Mukama ly’essuubi lye. Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi, ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga, nga wadde omusana gujja, tegutya n’amakoola gaagwo tegawotoka, so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya era teguliremwa kubala bibala.

13 Abaruumi 11:17

Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni,

14 Isaaya 5:1-2

Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu. Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu ku lusozi olugimu. Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna, n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi. Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa. N’agisimamu n’essogolero n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.

Emitwe egikwatagana