Ennyiriri za Bayibuli ku Okubeera mu Kristo

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Okubeera mu Kristo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yokaana 15:5

“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola.

02 Yokaana 15:7

Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

03 Yokaana 15:4

mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.

04 1 Yokaana 2:28

Kaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bw’alirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lw’aliddirako.

05 1 Yokaana 3:24

Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.

06 Yokaana 15:6

Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya.

07 Yokaana 15:9-10

“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe.

08 1 Yokaana 2:6

Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

09 1 Yokaana 2:27

Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.

10 Yokaana 6:56

Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye.

11 1 Yokaana 4:13

Mu ekyo mwe tutegeerera nti Katonda ali mu ffe era naffe tuli mu Ye, olwa Mwoyo gw’atuwadde.

12 Yokaana 8:31

Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala.

13 Abakkolosaayi 2:6-7

Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.

Emitwe egikwatagana