Ennyiriri za Bayibuli ku Kristo mu Mmwe

Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Kristo mu Mmwe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abakkolosaayi 1:27

Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

02 Abaggalatiya 2:20

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

03 Abaefeso 3:17

Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu,

04 Abaruumi 8:10

Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu.

05 2 Abakkolinso 13:5

Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa.

06 Yokaana 14:20

Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe.

07 Yokaana 17:23

Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.”

08 1 Yokaana 4:4

Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi.

09 Abaggalatiya 4:19

Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe,

10 Abaruumi 8:9

Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo.

11 1 Yokaana 3:24

Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.

12 Abaefeso 3:16-17

Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we, Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu,

Emitwe egikwatagana