Ennyiriri za Bayibuli ku Okugoberera Yesu
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okugoberera Yesu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere!
Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.
Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.”
Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”
Awo Yesu n’ayita ekibiina wamu n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere.
Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere.