Ennyiriri za Bayibuli ku Okununulibwa
Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Okununulibwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli,
Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.
eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala.
Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”
Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo;
Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo.
Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye eby’Omwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw’emibiri gyaffe.
“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri, kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti, “Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo, n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula, kubanga wattibwa, omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika, na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.
Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo; era y’alina okununula okutuukiridde.
Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa,