Ennyiriri za Bayibuli ku Kiwedde

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Kiwedde okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yokaana 19:30

Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.

02 Abaebbulaniya 10:12

naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

03 Abaebbulaniya 9:12

Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo.

04 Abakkolosaayi 2:14

Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba,

05 Abaruumi 8:1

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo.

06 Abaebbulaniya 10:14

Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.

07 Yokaana 17:4

Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza.

08 Abaebbulaniya 1:3

Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu.

09 Abaebbulaniya 7:27

ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi bye ye, n’oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.

10 Abaruumi 6:10

Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.

11 Abaebbulaniya 9:26

kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo.

12 Yokaana 19:28

Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.”

13 1 Peetero 3:18

Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo.

Emitwe egikwatagana