Ennyiriri za Bayibuli ku Omusaalaba n'Okutangirira

Ku musaalaba Yesu yeetikka ebibi byaffe, Omwana gw'Endiga owa Katonda aggyawo ekibi eky'ensi. Kiwedde — ebbanja lyasasulwa, obusungu bwaggyibwawo, ekkubo eri Katonda ne liggulwawo. Ennyiriri zino zifumiitiriza ku kwagala okwatununula olw'omusaayi gwe.

Omusaalaba — 1 Abakkolinso 1:18

Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.

Omusaayi gwa Kristo — 1 Peetero 1:18-19

Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala.

Omwana gw'Endiga ogwa Katonda — Yokaana 1:29

Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi.

Ssaddaaka — Abaebbulaniya 9:14

omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?

Okununulibwa — Abaefeso 1:7

Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli,

Kiwedde — Yokaana 19:30

Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.

Yeetikka Ebibi Byaffe — Isaaya 53:5

Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.

Omuddu Abonaabona — Isaaya 53:3

Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.

Okutabaganya — 2 Abakkolinso 5:18

Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya.

Obusungu Buggyiddwawo — Abaruumi 3:25

Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda.

Yakomererwa ku Lwaffe — Abaggalatiya 2:20

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

Ekikolimo Kiggyiddwawo — Abaggalatiya 3:13

Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”