Ennyiriri za Bayibuli ku Yakomererwa ku Lwaffe

Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Yakomererwa ku Lwaffe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaggalatiya 2:20

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

02 Abaruumi 5:8

Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.

03 1 Peetero 2:24

Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.

04 Abaggalatiya 3:13

Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”

05 1 Abakkolinso 1:23

naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru,

06 1 Peetero 3:18

Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo.

07 2 Abakkolinso 5:21

Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

08 Abakkolosaayi 2:14

Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba,

Emitwe egikwatagana