Ennyiriri za Bayibuli ku Omusaalaba

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Omusaalaba okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Abakkolinso 1:18

Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.

02 Abaggalatiya 6:14

Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olw’omusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, n’ensi ekomereddwa eri nze.

03 Abakkolosaayi 2:14

Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba,

04 Abafiripi 2:8

ne yeetoowaza, n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa, ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

05 1 Peetero 2:24

Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.

06 Abaebbulaniya 12:2

nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda.

07 Yokaana 12:32

Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.”

08 1 Abakkolinso 2:2

Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa.

09 Abaggalatiya 5:11

Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo.

10 Abaefeso 2:16

alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo.

11 Abakkolosaayi 1:20

era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

Emitwe egikwatagana