Ennyiriri za Bayibuli ku Ebiseera Byaffe mu Mukono gwe

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Ebiseera Byaffe mu Mukono gwe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 31:15

Entuuko zange ziri mu mikono gyo; ondokole mu mikono gy’abalabe bange n’abangigganya.

02 Zabbuli 139:16

Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.

03 Yobu 14:5

Ennaku z’omuntu zaagererwa, wagera obungi bw’emyezi gye era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.

04 Ebikolwa by’Abatume 17:28

Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’

05 Zabbuli 90:12

Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.

06 Yakobo 4:13-15

Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.”

07 Ekyamateeka Olwokubiri 32:39

Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye! Tewali katonda mulala wabula Nze; nzita era ne nzuukiza, nfumita era ne mponya; era tewali atangira mukono gwange nga gukola.

Emitwe egikwatagana