Ennyiriri za Bayibuli ku Yagala Muliraanwa wo

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Yagala Muliraanwa wo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Makko 12:31

N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”

02 Ebyabaleevi 19:18

“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.

03 Lukka 10:27

Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”

04 Abaggalatiya 5:14

Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”

05 Abaruumi 13:9-10

Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.

06 Matayo 22:39

N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’

07 Yakobo 2:8

Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”

08 Abaruumi 15:2

Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza.

09 Lukka 10:36-37

“Kale olowooza, ku bantu abo abasatu aluwa eyali muliraanwa w’omusajja oli eyagwa mu banyazi?” Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “Oyo eyamukolera ebyekisa.” Yesu n’amugamba nti, “Naawe genda okole bw’otyo.”

10 Matayo 7:12

Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”

Emitwe egikwatagana