Ennyiriri za Bayibuli ku Okwagala kwe Okutaggwaawo

Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okwagala kwe Okutaggwaawo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yeremiya 31:3

Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti, “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.

02 Abaruumi 8:38-39

Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

03 Zabbuli 136:1

Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

04 Yokaana 13:1

Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

05 Isaaya 54:10

Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana so n’endagaano yange ey’emirembe teriggyibwawo,” bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.

06 Zabbuli 103:17

Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.

07 Abaefeso 2:4-5

Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.

08 Zabbuli 100:5

Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Emitwe egikwatagana