Ennyiriri za Bayibuli ku Katonda Kitaffe
Katonda owa Bayibuli ye Kitaffe — ensibuko y'ekirabo kyonna ekirungi era Oyo okwagala kwe kwaweereza Omwana we ku bwaffe. Mwesigwa, wa kisa, alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo. Ennyiriri zino zikuyita owummulire mu mutima gwa Kitaffe gw'akukuba.
Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe.
Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.
Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi! Balina omukisa abaddukira gy’ali.
Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be, ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe. “Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.
Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.
Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?
Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo?
Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.
Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima.
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira, tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti, “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.